Zabbuli
Essuula 134
1 Mulabe, mumwebaze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama, Abayimirira ekiro mu nnyumba ya Mukama.
2 Muyimuse engalo zammwe eri awatukuvu, Mumwebaze Mukama.
3 Mukama akuwe omukisa ng'ayima mu Sayuuni; Oyo eyakola eggulu n'ensi.